Joined May 2017
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kigongo Kaawaase, era munna Gomba akoowodde abantu ba Kabaka okujja mu bungi e Wankulukuku nga 31 omwezi guno beerabireko nga Gomba emegga Kyaggwe
3
31
Ekiriwo kati Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule ne Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n'ensonga ez'enjawulo mu Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, batuuse mu Ssaza Buweekula, gyebagenze okusisinkana olukiiko lwa Luweekula, n'Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo okubabangula ku nkubiriza y'enkiiko z'obwakabaka entuufu. Abakiise mu lukiiko lwa Buganda okuli; Oweek Harriet Nampala Kiwanuka, ne Oweek Kasajja Gyaviira, weebali mu lukungaana luno olutudde ku mbuga y'e Ssaza. Enteekateeka emaze emyaka 2 nga etambuzibwa mu Masaza.
8
1
64
3,272
Situla Omutindo: Ssi Kyabugunjufu okumansa kasasiro buli wosanze. Ebifo Kasasiro w’olina okumuteeka webiri. Leka ffenna tweyagalire mu bifo ebiyonjo nga tukendeeza ku kumansa kasasiro.
12
44
2,077
Minisita wa Kabaka eyawummula Owek Ssewava Serubiri ayozaayozezza Captn. Herbert Mulasa Musiitwa olw’okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 70 namwebaza olw’okuweereza Kabaka we awataali kasiimo Captn Musiitwa yali omu ku b’ebyokwerinda mu Lubiri.@cbsfm_ug
1
43
BUGANDA KINGDOM LIBRARY
1
1
4
201
Don't miss out on this great annual event! @cpmayiga @BugandaKingdom_ @bbstvug @cbsfm_ug
1
2
36
Don't miss out on this!
1
1
33
BUGANDA NDA KU NTIKO
3
33
Abaweereza b'Obwakabaka mu kitongole ky'abagenyi, basisinkanye Minisita abatwala ne batema empenda ez'okubatwala mu maaso. Oweekitiibwa Noah Kiyimba abeebazizza okutumbula ekifaananyi ekirungi eky'obwakabaka, n'abasaba okweyisa obulungi wamu n'okukozesa obuyiiya.
2
48
Bannamwandu mu Ssaza Kyaddondo beekozeemu ekibiina mwebanaayisiza obubaka bwabwe ku nsonga ez’enjawulo. "Bright Stars" lye linnya lyebawadde ekibiina kyabwe nga kikulemberwa Muky. Kironde. Kino kitongozedwa Omwami w'Essaza lino, Kaggo, Oweek Hajji Ahmed Magandaazi Matovu.
1
49
Aba Uganda Child Cancer Foundation basisinkanye Minisita w'enkulaakulana y'Abantu Oweek Choltilda Nakate Kikomeko, neboogera ku nsonga y'okussaawo enkolagana n'Obwakabaka basobole okuzimba ekisulo ky'Abaana abatawanyizibwa kookolo.@BugandaKingdom_
2
29
Minisita w'Obuwangwa n'Ennono Oweek. Dr. Anthony Wamala akuutidde abakulembeze mu Bika okwongera okunyweza obukulembeze, n'okutandikawo polojekiti ezikulaakulanya Ebika.
2
23
Ettabi lya Kabaka Foundation e Sweden lyegasse ku matabi amalala okwetoloola ensi yonna okujaguza emyaka 30 nga ekitongole ekyatandikibwawo Ssaabasajja Kabaka kiweereza abantu be mu nkulaakulana eziyamba ebitundu bya Buganda eby'enjawulo. @BugandaKingdom_
2
104
Wuuno munna Buddu era muzzukulu wa Kasujja (Ngeye) Almorie Naggayi eyawangudde ekya Nnalulungi wa Uganda 2026/27. Tukuyozaayoza nnyo munnaffe era tukwagaliza birungi byereere. @cbsfm_ug
3
39
Essaza Kyaddondo likwasiddwa engabo ne kavu wa bukadde butaano, olw'okusukkuluma mu Masaza amalala 18 mu ntambuza y’emirimu. @BugandaKingdom_
2
90
Abantu ba Kabaka okuva mu masaza okuli Kyaddondo, Ssingo, Busiro, Mawogola, Bugerere, Kkooki, Butambala, Ggomba n'amalala beetikkidde Ssaabasajja Kabaka amakula nga ogumu ku mukolo gw'okukuza olunaku lwa Bulungibwansi ne Gavumenti ez’Ebitundu.
30
Katikkiro agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. @BugandaKingdom_
2
45